Hosea 4

Okulabula eri Isirayiri

1 aMuwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,
kubanga Mukama abalinako ensonga
mmwe abatuula mu nsi.
“Obwesigwa n’okwagala Katonda,
n’okumumanya bikendedde mu nsi.
2 bWaliwo okukolima, n’okulimba, n’okutta,
n’okubba, n’okukola eby’obwenzi;
bawaguza,
era bayiwa omusaayi obutakoma.
3 cEnsi kyeneeva ekaaba,
ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa;
n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko zirifa, n’ennyonyi ez’omu bbanga nazo zirifa,
n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.

4 d“Naye temuloopagana,
so tewabaawo muntu avunaana munne,
kubanga ensonga
ngivunaana gwe kabona.
5 eWakola ebibi emisana n’ekiro,
ne bannabbi ne babikolera wamu naawe;
kyendiva nzikiriza maama
maama kitegeeza Obwakabaka bwa Isirayiri
wo.
6 gAbantu bange bazikiridde olw’obutamanya.

“Kyemunaava mulema
okubeera bakabona bange;
era olw’okulagajjalira etteeka lya Katonda wo,
nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.
7 hGye beeyongera okuba abangi,
gye baakoma n’okukola ebibi;
baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.
8 iBagaggawalira ku bibi by’abantu bange,
era basemba okwonoona kwabwe.
9 jEra bwe kityo bwe kiriba eri abantu n’eri bakabona:
ndibabonereza olw’enneeyisa yaabwe,
era ne mbasasula ng’ebikolwa byabwe.

10 k“Balirya naye tebalikkuta,
balikola ebibi eby’obwenzi kyokka tebalyeyongera bungi,
kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo
11 leri obwenzi,
wayini omukadde n’omusu,
ne bibamalamu okutegeera.
12 mAbantu bange
beebuuza ku kikonge ky’omuti,
ne baddibwamu omuti.
Omwoyo ogw’obwenzi gubasendasenda
ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.
13 nBaweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.

14 o“Siribonereza bawala bammwe
olw’okubeera bamalaaya,
newaakubadde baka baana bammwe
okukola eby’obwenzi,
kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya,
ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya ab’omu masabo;
abantu abatategeera balizikirira.

15 p“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda,
omusango guleme okuba ku Yuda.
Togenda Girugaali,
newaakubadde okwambuka e Besaveni.
Besaveni kitegeeza ennyumba ey’abakozi b’ebibi

Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bw’ali omulamu.’
16 rAbayisirayiri bakakanyavu mu mitima
ng’ennyana endalu.
Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira
ng’abaana b’endiga abali mu kisibo?
17Efulayimu yeegasse n’abasinza ebifaananyi,
mumuleke abeere yekka.
18Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako,
beeyongera mu bwamalaaya;
n’abakulembeze baabwe baagala nnyo eby’ensonyi:
19 sEmbuyaga kyeziriva zibatwala,
ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”
Copyright information for LugEEEE